Matayo Twinomujuni alabirira ba namagoye awambiddwa misana
Kati ziweze ennaku mukaaga kukya abasajja abateeberezebwa okuba abaamaje lwe baawamba Matayo Twinomujuni nnanyini kitongole kya Matayo Foundation ekiyamba okutereeza obulamu bw’abannamagoye ku wofiisi zaabwe e Kasubi . Kati baanamagoye wamu n’abantu abalala abakola ne Matayo bali mu kutya olw’omuntu waabwe okuwambibwa ate nga nè bwê baawaaba ku Poliisi tebaayambibwa.